Isaiah 15

Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu

1 aMu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa
ne kimalibwawo.
Kiiri
Ali ne Kiiri bye bibuga ebikulu eby’Abamowaabu.
ekya Mowaabu nakyo
ne kizikirizibwa mu kiro!
2 cAbantu b’e Diboni bambuse ku lusozi
okukaabira mu ssabo lyabwe.
Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.
Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri
na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
3 dBeesibye ebibukutu mu nguudo;
ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba.
Buli muntu atema emiranga
n’abikaabira amaziga amayitirivu.
4 eKesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.
Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.

5 fOmutima gwange gukaabira Mowaabu;
abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali
ne Yegulasuserisiya.
Bambuka e Lakisi
nga bwe bakaaba;
bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu
nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
6 gAmazzi g’e Nimulimu gakalidde,
omuddo guwotose,
omuddo omugonvu, guggwaawo,
tewali kintu kimera.
7 hAbantu basomoka akagga ak’enzingu
nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
8Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;
amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,
n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.
9 iAmazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi,
naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni;
empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu,
ne ku abo abalisigalawo ku nsi.

Isaiah 16

1 j“Muweereze abaana b’endiga
eri oyo afuga ensi,
okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu,
okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
2 kNg’ennyonyi ezabulwako ekisu
n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri,
bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu
awasomokerwa Alunooni.
Alunooni mugga mukulu mu Mowaabu; guli nsalo ey’obukiikakkono


3 m“Tuwe ku magezi,
tubuulire, tukole tutya?
Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze
wakati mu ttuntu,
Abajja bagobebwa mubakweke,
abajja badaaga temubalyamu lukwe.
4 nMuleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.
Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.”

Omujoozi bw’aweddewo,
n’okubetentebwa ne kuggwaawo;
omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
5 oEntebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,
era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi
alamula mu bwesigwa
era anoonya obwenkanya
era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.

6 pTuwulidde amalala ga Mowaabu,
nga bw’ajjudde okwemanya,
n’amalala ge n’okuvuma;
naye okwemanya kwe tekugasa.
7 qNoolwekyo leka Mowaabu akaabe,
leka buli muntu akaabire ku Mowaabu.
Mukungubage,
musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
8Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze,
n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo.
Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala
emiti gyabwe egyasinganga obulungi,
egyabunanga ne gituuka e Yazeri
nga giggukira mu ddungu
n’emitunsi nga gibuna
nga gituukira ddala mu nnyanja.
9 rNoolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba
olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.
Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,
ggwe Kesuboni ne Ereyale:
kubanga essanyu ery’ebibala byo
n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 sEnnimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;
ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;
mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;
okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 tOmutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
12 uAwo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu,
alyekooya yekka;
bw’aligenda okusamira,
tekirimuyamba.
13Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda. 14 vNaye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”

Copyright information for LugEEEE